Okulunda obunyenyenkule obw’okulya n’okuliisa ebisolo
Uploaded 1 year ago | Loading
14:19
Abantu abalya ebiwuka ng’ensenene, enkuyege, enswa oba obunyenyenkule, babikwaata mu ttale mu biseera byaabyo. Mu bitundu ebimu ebiwuka ebiriibwa byakendeera kubanga embeera y’ensi yakosebwa. Okulunda ebiwuka ku nnimiroyo kusobola okkuwa emmere ezimba omubiri omwaka gwonna. Ebiwuka ebiriibwa birya kitono okusinga enkoko, endiga n’embuzi ate nga birimu ekiriisa kisuffu ku bantu n’ebisolo.
Current language
Luganda
Produced by
Jane Nalunga