Okukola ebigimusa mu by’enyanja ebyonoonese
Uploaded 1 year ago | Loading
15:20
Ebyenda, emitwe, amaliba oba ekitundu ekirala kyonna eky’ebyennyanja abantu bye batalya bisobola okubifuulibwa ekigimusa eky’obutonde ng’obivunza. Kasasiro w’ebyennyanja alimu ekirungo kya nayitrojeni, phosphorus, calcium ne vitamiini. Nga tukozesa ebigimusa by’ebyennyanja, tusobola okwongera ku buwuka obulungi mu ttaka, olwo ettaka ne lifuna obulamu era ebimera nebifuna mangu ebiriisa. Kino kireetera ebirime okuba n’emirandira wamu n’ebikoola ebinywevu, okusobola okugumira obulungi ebiwuka n’endwadde, n’okubala ebingi. Ebigimusa by’ebyennyanja nabyo bitumbula omutindo gw’ebirime.
Current language
Luganda
Produced by
Green Adjuvants